Isaiah 10:20-22

Abalisigalawo ku Isirayiri

20 aAwo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri,
n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo
nga tebakyeyinulira ku oyo
Kino kyogera ku bantu ba Bwasuli

eyabakuba
naye nga beesigama ku Mukama Katonda,
omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.
21 cEkitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo
kirikomawo eri Katonda ow’amaanyi.
22 dKubanga wadde abantu bo bangi ng’omusenyu gw’ennyanja,
abalikomawo nga balamu baliba batono.
Okuzikirira kwo kwa kubaawo
kubanga kusaanidde.
Copyright information for LugEEEE